Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda omuli ba Minisita, Abaami b’Amasaza n’abalala basitudde okwolekera e ssaza lye Buddu ggye bagenda okwetaba mu lusirika lwa Bakulembeze mu Buganda ku wooteeri ya Maria Flo mu kibuga Masaka.
Olusirika luno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti; Obuvunanyizibwa Bw’olukiiko mu kusitula embeera z’abantu mu Buganda.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokusatu ku nteekateeka eno, Minisita avunaanyizibwa ku by’amawulire okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Kazibwe Israel Kitooke ategeezezezza nti Olusirika luno lugendereddwamu okwongera okulung’amya abakulembeze mu Buganda ku nzirukanya y’emirimu.
Owek. Kazibwe annyonnyodde nti bakubangula abakiise ku buvunaanyizibwa bw’Olukiiko n’engeri abakiise gyebasobola okuyambako okuteeka Nnamutaayiika w’Obwakabaka mu nkola kiyambe okunyweza obumu mu bantu b’Omutanda.
Okusinziira ku minisita Kazibwe, Olusirika luno lwa kuggulwawo Kamalabyonna Charles Peter Mayiga era nga ennaku wezinagwerako abakulembeze bajja kuba bategedde ekituufu ekirala okukolebwa ku nsonga ez’enjawulo.
Ono agasseeko nti olusirika luno lwakwetabwamu abakiise mu lukiiko lwabuganda olukulu, Abaami masaza ga Buganda e 18 n’abakulembeze ba bavubuka mu masaza gano era nga bano olunaku olw’enkya baakutandika n’emisomo egibabangula mu by’Obukulembeze.
Kinajjukirwa nti enteekateeka eno ebaawo buli mwaka era nga egendereddwamu okuyimusa empereza y’ abakiise b’Olukiiko n’okutumbula emirimu mu Bwakabaka.