Abagambibwa okutta abakazi n’omwana basindikiddwa ku alimanda e Kitalya
Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi wa kkooti ya Mwanga II e Mmengo, Amon Magezi, asindise ku alimanda, abasajja babiri abagambibwa okutemula abakazi abawera 4 n’omwana ow’emyezi 3 n’oluvannyuma emirambo gyabwe ne bagikumako omuliro.
Bano kuliko; Brian Musasizi, 23 ne Abdul Kasaija, 23, omuvuzi wa boodabooda era bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi olwaleero ku Lwokusatu ne bavunaanibwa omusango gw’obutemu.
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti abasajja bano bwe baali mu zzooni ya Mujomba e Nakulabye wano mu Kampala, baapanga okutemula Maclean Ahereza, Elizabeth Mutesi, Noleen Nabirye, Violet Kansiime wamu n’omwana omuto Abigail Nakitende.
Bano omulamuzi tabakkiriza kubaako kye banyega olw’ensonga nti emisango egibavunaanibwa gya Nnaggomola egiwozesebwa kkooti enkulu.
“Tetulina buyinza kuwulira musango gwammwe naye tujja kusigala nga gusomebwa okutuuka nga kusindikiddwa mu kkooti enkulu musobole okuwozesebwa.” Omulamuzi bw’agambye. Omuwaabi wa gavumenti, Emilly Ninsiima ategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso, ekiwaliriza Omulamuzi okwongerayo omusango guno okutuuka nga April,12, 2021 bw’atyo n’abasindika e Kitalya.
Ababiri bano baakwatibwa Ssabbiiti ewedde oluvannyuma lw’ekittabakazi okuddamu okulabikako mu ggombolola y’e Lubaga ekyawaliriza ab’ebyokwerinda okutandika omuyiggo.
Oluvannyuma lw’okukwatibwa, Musaasizi yategeeza abaali bamukutte nga bwe baasooka okusobya ku bakyala bano n’oluvannyuma ne babatuga, mu ngeri y’okubuza obujulizi era baasalawo okwokya emirambo gyabwe.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, ono bwe yali aggyibwako sitatimenti yategeeza poliisi nti okutta kwali kumunyumira era n’akakasa nti n’omwana Nakitende ye yamutta.