Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka ba Palamenti ku ludda oluwabula gavumenti nga bakulembeddwamu Minisita w’ebyettaka ku ludda oluwabula gavumenti, Eng. Ronald Nsubuga Balimwezo n’omubaka wa Mityana South, Richard Lumu, baweze obutaganya gavumenti kuggyawo ttaka lya mayiro kuba kikontana ne Ssemateeka.
Bano ekirayiro kino bakikoze basisinkanye Minisita w’ebyettaka mu Buganda, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo wamu n’abakungu okuva mu Buganda Land Board ku Lwokuna e Bulange Mmengo.
Mu nsisinkano eno, omubaka Lumu yawadde Obwakabaka amagezi okulondoola ensonga y’ettaka nga butunuulira Ssemateeka wa 1962 kuba annyonnyola bulungi obwannannyini bw’ettaka wamu n’obukulu bwa mayiro mu Buganda.
“Ssemateeka wa 1962 annyonnyola bulungi ensonga y’ettaka ng’eva ku ndagaano ya 1900 newankubadde nga baagiggyawo era kubanga yali erina engeri gy’ennyonnyola obwannannyini bw’ettaka nawanga 15. Era nnina ekirowooza nti singa tuddayo ne twebuuza ku Ssemateeka wa 1962 n’ebizibu bye tulimu biyinza okuggwaawo.” Munnamateeka Lumu bwe yagambye.
Ono era ategeezezza nti waliwo ebyekusifu ebikwekeddwa mu tteeka lye baagala okukolamu ennongoosereza mu kawayiro 26, wano n’asaba Obwakabaka okukwatagana n’abakulembeze b’ennono abalala kuba kino kikosa bonna.
Ye Eng. Ronald Balimwezo, agamba nti bagenze batambula mu bantu ab’enjawulo abakwatibwako ensonga y’ettaka okusobola okumalawo emirerembe egiriko awamu n’okulaba nti bannanyini ttaka tebalyamanyizibwa.
“Buganda ekwata kyakubiri ku balina ettaka eringi ng’eddirira gavumenti eyaawakati nekuddako abakatoliki. Nasobodde okufuna omukisa n’enjogerako nabo era tumanyi bulungi nti waliwo okusoomoozebwa ku ttaka.” Balimwezo bwe yannyonnyodde.
Owek. Mariam Nkalubo yasoose kubabuulira ensonga ezaanokolwayo Kamalabyona wa Buganda ezisibukako enkaayana ku ttaka n’asaba nti singa zino zitunulwamu mu ngeri y’obukkakkamu tewali kuwannaanya, ensonga y’ettaka esobola okumalirizibwa.
“Twagala tugonjoole ebintu ebyo nga tugendera ku nkola ya Ssaabasajja Kabaka gye yalambika ng’ayita mu kitongole kya Buganda Land Board bwe yagamba nti bw’oba tolina busobozi owa busuulu ate afunye ku busobozi asobola okusasula busuulu era bonna ne basigala ku ttaka.” Minisita Nkalubo bwe yagasseeko.
Kinajjukirwa nti Omutanda bwe yali ku Matikkira ge ag’omulundi ogwa 28 e Nkoni yakakasa nga Buganda bw’etagenda kukkiriza muntu yenna kutwala bintu byayo by’erinako obwannannyini nga muno mwe muli n’ettaka.