• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abaana baffe tubawe eky’okulabirako ekirungi – Nnaabagereka Nagginda

Gambuuze by Gambuuze
February 14, 2026
in Amawulire
0 0
0
Abaana baffe tubawe eky’okulabirako ekirungi – Nnaabagereka Nagginda
0
SHARES
13
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Busiro

Nnaabagereka Sylvia Nagginda akubirizza abazadde okukuza obulungi abaana baabwe nga bababeerera eky’okulabirako ekirungi.

“Ffe nga abazadde tulina okufaayo ennyo okulaba nga bye tunaalekawo abaana baffe bajja kusobola okubitwala mu maaso era nabo nga bakola ebyo ebisaanidde okukolebwa nga balaga obuntubulamu obutali bwa kwetiririra naye obwo obulimu okwagala, okukola n’amaanyi, n’okufaayo eri abalala” Nnaabagereka Nagginda.

Bino Nnaabagereka Sylvia Nagginda abyogeredde Lwemwedde mu Busiro, ku mukolo gw’okusabira emyoyo gy’abagenzi Paul Kayongo Lule ne Margaret Faith Lule, bazadde ba Pulofeesa Godfrey Lule Nsereko omusawo omukugu addukanyiza emirimu gye e Kenya era bannayuganda bangi bamweyunira okufuna obujjanjabi obutuufu ku ndwadde ezibaluma.

Nnaabagereka asiimye ebyo abagenzi bye baakola mu bulamu bwabwe, ne baleka omukululo ogulabikira mu baana baabwe abafuuse ab’omugaso eri eggwanga era agamba nti kigwanidde okutendereza omutonzi eyabasobozesa okukola ebyo bye baakola. Bw’atyo n’asaba abazadde bonna okussa essira ku nkuza y’Abaana. Nnaabagereka yebazizza Prof. Godfrey Nsereko Lule n’Omukyala olw’okufaayo ennyo ku bannayuganda abeetaaga obujjanjabi e Nairobi.

Katikkiro omuwummuze Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemogerere, agambye nti kikulu okuwa bantu bannaffe ekitiibwa kubanga Uganda ya buli omu, asabye abantu okwagalana olwo lwe banaasobola okukuuma eggwanga Uganda nga liri wamu.

Pulofeesa Godfrey Lule Nsereko, yebazizza abantu okumussaamu obwesige n’abatuusaako obuweereza bwe beetaaga era agamba nti kuno kuyitibwa kwasaanidde okutuukiriza mu buntubulamu.

Omukolo gukulembeddwamu essaala ez’okuwonga abagenzi mu mikono gy’Omutonzi abasaasire ebyabasobako era ekulembeddwamu Rev. Canon Augustine Magala Musiwufu dean w’e Namirembe omuwummuze.

Omukolo gwetabiddwako, Omulangira Namugala n’Omuzaana we, Oweek. Noah Wamala Nnyanzi, Oweek. Martin Sseremba Kasekende n’abakungu mu buweereza obw’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist