Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Abaami b’eggombolola balambikiddwa ku nsonga y’Amakula ga Kabaka Abaami b’eggombolola ezikola Buganda baweereddwa omusomo ogubalambika ku nteekateeka y’Amakula ga Kabaka, era guno gutegekeddwa mu Bulange e Mmengo.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu era avunanyizibwa ku kulambula kwa Ssaabasajja Kabaka Oweek. Joseph Kawuki y’aguddewo omusomo n’ajjukiza abaami ba Kabaka ab’eggombolola nti Ssaabasajja nga atikkirwa e Naggalabi mu 1993, Abaganda bawera okulabirira Kabaka waabwe era baagamba Kabaka waabwe ssi mu pakassi taasanidde kuweebwa mulimu gwonna kukola wabula bajja ku mukolerera nga bawaayo amakula ng’ekimu ku bye balina okuyitamu okulabirira Kabaka. Abasabye okutema empenda bateekewo omukululo nga buli omu alabira ku bbo mu kuwaayo amakula ga Kabaka.
Minisita Kawuki abasabye okutwala ensonga y’amakula nga ey’enkizo ennyo kubanga mwe muva ensimbi n’ebyo ebikozesebwa mu mbiri, Embuga awamu n’amasiro ag’enjawulo oku nyikiza obuweereza.

Minisita abasabye okunyweza obukulembeze okwongera okusala entotto ku bintu ebikolebwa mu buweereza bwabwe. Wano w’abasabidde obutawa budde abo bonna aboogera eby’ensimattu ku Ssaabasajja Kabaka.
Omumyuka Owookubiri owa Ssekiboobo Mw. Fred Katende asabye abaami b’eggombolola okwetaba mu nteekateeka zonna eza gavumenti ya Kabaka.
Omuwandiisi wa Ssaabasajja ow’ekyama Omuk. Douglas Mukiibi agamba nti abaami ba Kabaka basaanidde okumanya nti Ssaabasajja agoberera buli kimu kye bakola era abasabye bakole emirimu gyabwe nga bagoberera obukulembeze mu Bwakabaka.
Omuwanika wa Nkuluze Omuk. John Kitenda yebazizza nnyo abaami ba Ssaabasajja Kabaka okukola n’amaanyi okugumizza emirimu n’entambuza y’emirimu naddala Ssaabasajja baaba asiimye balabiribwe okwetoolola ensi yonna. Wano asabye abaami bano bakole ekisoboka kyonna okukunga abantu abawerako mu bitundu byabwe okumanya enteekateeka n’omutindo gw’amakula agaweebwa Ssaabasajja Kabaka okusobola okusiiga ekifaananyi eky’omuwendo Ssaabasajja kyalabirwamu.
Akiikiridde woofiisi ya Katikkiro w’ebyalo Omulongo Wasswa Bukenya anyonnyodde omulamwa gw’Amakula ga Ssaabasajja Kabaka nga muno mulimu ensonga ez’enkizzo 3; ennono y’ago, obuvunanyizibwa bw’omwami ow’eggombolola ku nsonga eno n’omutindo gw’amakula agaleetebwa era wano asambazze byonna ebyogerebwa abatamanyangamba ku nsonga eno.
Eggombolola mukulu wa Kibuga ye yanywa mu ndala akendo okuwaayo amakula ate Ssaabaddu Kira yakwata kyakubiri mu amakula omwaka oguwedde.









