Bya Ssemakula John
Mmengo – Kyaddondo
Abaami ba Kabaka baweereddwa amagezi obuweereza bwabwe okubwesigamya ku bumu kibayambeko okugussa obuvunannyizibwa bwabwe nokuzza Buganda ku ntikko.
Amagezi gano gabaweereddwa akuuma entebe ya Kaggo Hajji Ahmed Matovu Magandaazi mu nsisinkano gyabaddemu nabakulembeze ba Ssaabasajja mu gombolola ya Mukulu wa kibuga Mmengo Lubaga ku mbuga y’eggombolola.
Hajj. Magandaazi akubiriza abakulembeze nga baweereza okufuba okunnyikiza obumu mu bantu n’okugoberera ennambika z’Obwakabaka nga mu kino lwebajja okusobola okukulaakulanya eggombolola eno n’Obwakabaka okudda ku ntikko.
Omukiise wa Kyadondo mu lukiiko lwa Buganda, Owek. Jane Francis Lukwago agamba nti kino kikoleddwa okwongera okunnyikiza obuweereza bwa Ssaabasajja mu bantu n’okunyweza obumu.
Omwami wa Kabaka amulamulirako eggombolola ya Mukulu wa Kibuga, Mukasa Samuel Bakaanoga annyonyodde nti omwaka guno essira okusinga bakulisa ku misomo nga omu ku kaweefube w’okukulaakulanya eggombolola.
Ensisinkano eno ebaddemu Abatongole, Abaami b’omuluka n’ abakulembeze mu bitongole ebyenjawulo.