Bya Gerald Mulindwa
Bulange Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe era akkiriza nti abo abaasuuliddwa mu kalulu akaawedde, kyavudde ku kusuula buvunaanyizibwa bwabwe eri abalonzi n’eggwanga lyabwe.
Bino Katikkiro Mayiga abyogedde asisinkanye Mmeeya wa Lubaga, Zacchy Mawula Mberaze, wamu ne bakkansala abalonde ku Division ya Lubaga ne ku KCCA.
“Bannabyabufuzi bangi tebamanyi buvunaanyizibwa bwabwe kye butegeeza, balowooza eby’obufuzi kazannyo era ndowooza abamu ku abo baasuuliddwa lwakuba abantu babalaba nga tebategeera buvunaanyizibwa, temuwugulibwa.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga abakuutidde okunywerera ku nsonga baleme kuwuguka wadde ng’emyaka gyabwe gikyali era balina bingi bye bakyasobola okutuukako mu bulamu nga singa balemerako bajja kwesanga nga batuuse ku ntikko y’obukulembeze. “Mukitegeere nti mu maaso ebirungi gyebiri kasita muyita mu kugezesebwa kuno kati mwe kwemuliko.” Mayiga bw’ alambuludde.
Abalabudde ku bizibu by’obuvubuka omuli okunyiiga wamu n’okucamuka nga bino bibaleetera okukola ebintu bye batandikoze, abajulizza ebigambo bya Mandela. Mayiga asabye abakulembeze bano okufaayo balongoose enguudo ezituuka ku bifo by’enkizo naddala ebya Buganda okuli oluguudo olwetoloola Olubiri lw’ e Mmengo olwa Ring Road, oluguudo olugenda ku Lubiri lwa Mujaguzo e Kabowa era bafube okulaba nga obuyonjo bukuumibwa mu bifo bino.
Owek. Mayiga abasiimye olw’okukiika embuga n’agamba nti eno ntandikwa nnungi kuba kyongedde okulaga omukwano gw’abavubuka abato eri Kabaka ne Buganda.
Mmeeya wa Lubaga omulonde, Zacchy Mawula Mbeeraze, yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubasisinkana era ne yeeyama ku lwa banne okubeera omuwulize eri enteekateeka z’Obwakabaka n’ebikujjuko.
Bano baaguze Ssatifikeeti ya mitwalo ataano okuwagira emirimu gy’Obwakabaka, ekigendererwa kye nsisinkano eno kwe kulaba abakulembeze mu Lubaga bwe bayinza okukwatagana n’Obwakabaka okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe.