Bya Noah Kintu
Ssembabule
Okulonda kw’akalulu ka bonna aka 2021 nga kwongera okusembera, agava mu ssaza lya Kabaka erya Mawogola, galaga nga bannakibiina kya National Unity Platform NUP, bwe basuddewo alina kkaadi y’ekibiina ku bubaka bwa Mawogola North ne bawagira ali ku bwannamunigina.
Bano abasoba mu kikumi bagamba nti basazeewo okuwagira Nakayiza Catherine atalina kibiina kubanga alina bbendera mu NUP, yalemwa okugenda wansi mu bantu okunoonya akalulu.
Bano okuli; Jjuuko Herman, Luwemba Emmanuel kwosa, Ndugga Kamada n’abalala, basinzidde ku Cristo centre mu ttawuni kkanso y’e Ssembabule ne balangirira nga bwe basaze eddiiro.
Bano balumiriza nti munnakibiina kyabwe, Nyanzi Henry Mawejje, okulabikako mu bantu yakoma ku kwewandiisa ng’alinga eyava edda mu lwokaano.
Bannyonnyodde nga Mawejje bw’atalina ky’akoze ku bannaabwe abasibwa mu makomera n’okutulugunyizibwa, oluvannyuma lw’okukwatibwa Kyagulanyi lwe yali e Ssembabule ng’anoonya akalulu.
Ekirala, kye bavunaanye Mawejje kwe kuba ng’ebizibu byabwe ebibaluma tabimanyi bulungi kuba si nzaalwa ya kitundu kino, nga kigenda kumubeerera kizibu okubikolako kuba wadde akalulu tekannakubibwa naye abakozesezza awatali kubayamba mu ngeri yonna.
Bagattako nti wadde Nakayiza si y’alina kkaadi ya NUP naye yakola buli kimu okwaniriza Kyagulanyi nga Mawejje atunula butunuzi.
Ate ye Nakayiza Catherine bw’abadde ayaniriza abantu bano, abasabye okunywerera ku Kyagulanyi awangule obwapulezidenti kubanga y’alimu omulamwa era baleme kutiisibwatiisibwa.
Bwe tutuukiridde Nyanzi Henry Mawejje ku nsonga eno, agambye nti abamwabulidde tabalinaako buzibu era nga ddembe lyabwe okuwagira omuntu yenna gwe baagala wadde nga baguliddwa obusente ssente.
Agambye nti si kituufu nti tali mu bantu kuba kkampeyini azze azikola ng’atambula mu bantu kw’ossa n’okuteeka obulango ku mikutu egyenjawulo mu kitundu, n’agamba nti abaguliddwa baweereddwa waragi.