Bya Betty Namawanda
Masaka – Buddu
Bannakibiina kya National Unity Platform abagenda okutuula mu Palamenti y’e 11, balabuddwa obuteetantala kulya ssente eziteekeddwateekeddwa okubaweebwa Pulezidenti Museveni okuggusa by’ayagala nti bwe banaakikola abalonzi baakubakangavvula.
Okulabula kuno kukoleddwa Rev. Fr. Richard Mugisha okuva mu kigo ky’e Bisanje mu kibuga Masaka , bw’abadde akulembeddemu ekitambiro kya Mmisa ekitegekeddwa omubaka w’essaza lya Bukoto East, Munna NUP Ronald Evans Kanyike, okwebaza Katonda okumuwanguza akalulu ku kyalo Kitoma mu muluka gw’e Kanywa mu ggombolola y’e Buwunga mu disitulikiti y’e Masaka.
Wano Fr. Mugisha w’asinzidde n’alabula ababaka ba palamenti naddala abali ku ludda oluvuganya gavumenti obutagezaako kulya ssente za Pulezidenti Museveni kubanga za kikolimo era nga yenna anaagezaako okuzirya, abalonzi baakumubonereza.
“Nneewuunya okulaba nga n’okutusa kati ssentebe wa kkooti ya magye, Gen. Guti ne Pulezidenti Museveni bakyagaanye okuyimbula abavubuka abaakwatibwa ku byekuusa ku nsonga z’ebyobufuzi nga nti ebyobufuzi byaggwa nga kino kye kiseera bayimbulwe awatali bukwakkulizo basobole okweyagalira mu nsi yaabwe era nsaba ababaka ba palamenti mukulembeze obumu ssaako okussa essira ku bintu ebiruma bannyuganda naddala nga mulwanirira abaana abali mu makomera ssaako n’abanyigirizibwa” Fr. Mugisha bwe yategeezezza
Wabula asekeredde ababaka abaagwa ssaako ne baminisita abaali beeyita ab’ekitalo era n’abawa amagezi bulijjo okukimanya nti mukama Katonda abeera n’enteekateeka ze.
Ye omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Buddu, Ppookino Jude Muleke, awabudde ababaka bonna abava mu Buganda okwerabira enjawukana zaabwe mu byobufuzi wabula beegatte basobole okwogera eddoboozi limu ku nsonga z’okubanja ebintu by’Obwakabaka.
Bo ababaka bannakiibiina kya DP abeetabye ku mukolo guno nga baakulembeddwamu John Paul Lukwago Mpalanyi omubaka w’essaza ly’e Kyotera ne Fortunate Rose Nantongo omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kyotera, baasinzidde ku mukolo guno ne beegatta ku bannayuganda bonna okuyozaayoza Oweekitibwa Mathias Mpuuga Nsamba, eyalondeddwa okubakulira mu Palamenti era ne beeyama okukolagana naye.
Mu kwogera kwe, nannyini mukolo guno omugole era omubaka w’essaza lya Bukoto East, Ronald Evans Kanyike, yabotodde ekyama nga Pulezidenti Museveni bwe yatandise edda okubakubira essimu nga abaperereze okumwegattako, ky’agambye nti ye tagenda kukikkiriza kubanga amanyi abalonzi be kye baagala.
Bo bannakibiina kya NUP okuli Mmeeya w’ekibuga Masaka, Hon Florence Namayanja, omubaka omukyala ow’ekibuga Masaka Juliet Kakande Nakabuye, Dr. Twaha Kagabo omubaka wa Bukoto South, Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Masaka, Joan Namutawe n’abalala, baasabye Hon. Kanyike obutabaswaza my buweereza bwe, ssaako okukulisa Oweekitibwa Mathias Mpuuga Nsamba olw’obuvunaanyizibwa obwamuweereddwa nga bagamba nti bamulinamu essuubi.