• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Aba NRM abagenze okutabagana bakubaganye

Gambuuze by Gambuuze
October 26, 2020
in Amawulire
0 0
0
Aba NRM abagenze okutabagana bakubaganye
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Jesse Lwanga

Mukono

Bannakibiina kya National Resistance Movement (NRM)abasisinkanye okutabagana, bakubaganye ebikonde n’okwesika ebitogi ng’entabwe eva ku bigambibwa nti waliwo oludda oluwagira abeesimbyewo ku lwabwe luleka abasimbiddwawo ekibiina.

Abamu ku bawagizi nga bakubagana

Olukiiko luno lutuuziddwa ku Grand Prolos Gardens e Nasuuti, mu kibuga Mukono naye gye biggweeredde ng’abagenze okuteesa abamu banyiga biwundu.

Olukiiko luno olubadde lukubirizibwa Omubaka okuva ku kakiiko k’ekibiina ak’oku ntikko akamanyiddwa nga CEC, Kato Gabriel, lusoose kutambula bulungi.Kato ategeezezza bannakibiina nga bwe balina okwegatta era basonyiwagane ku ebyo ebitaagenda bulungi mu kamyufu k’ekibiina kibayambe okukolera awamu, baleetere ekibiina obuwanguzi.

Entabwe evudde ku yeesimbyewo ku ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mukono ku kkaadi y’ekibiina, Nakavubu Margret, okulumiriza omubaka wa Mukono North era Minisita Ronald Kibuule, okugaana okumuwagira n’awagira atalina kibiina.

Wano abawagizi ba Minisita Kibuule batabuse n’aba Nakavubu ekizzeeko beegudde mu malaka nga buli ludda lulumiriza lunnaalwo enkwe n’obutaagaliza.

Kino kiwalirizza Omubaka wa Mukono South, Muyanja Ssenyonga okubawooyawooya naye n’ategeeza nti obuzibu buviira ddala ku bakulembeze b’ekibiina mu kitundu kino, abaleese emivuyo.

Wabula bino ssentebe wa NRM mu Mukono Central division, Livingstone Male, abisambazze n’ategeeza nti ensobi ebadde ku Nakavubu kuwalampa Minisita Kibuule atabadde mu Lukiiko luno kwewozaako.

Ate ye ssentebe wa NRM mu Mukono, Hajji Twahiri Ssebagala, asabye bannakibiina okukomya enkwe wamu n’olugambo kuba bino bye bisinze okutabula ekibiina kyabwe.

Omubaka wa Pulezidenti e Mukono, Fred Bamwine ategeezezza nti okusookera ddala olukiiko luno lwatuuziddwa mu bukyamu era nga tewabaddewo wa byakwerinda kutangira kwegwa mu malaka, n’awera obutaddamu kukkiriza bikolwa bya kika kino mu kitundu kye.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist