• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Aba NRM abagala ebifo ku CEC basiibye banoonya kalulu

Gambuuze by Gambuuze
August 19, 2020
in Amawulire
0 0
0
Aba NRM abagala ebifo ku CEC basiibye banoonya kalulu
0
SHARES
13
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abeegwanyizza okutuula ku kakiiko akakulu aka NRM akamanyiddwa nga CEC  ku Lwokusatu basiibye booogereza balonzi babayiire obululu nga bayita ku mutimbagano ne ttivi ez’enjawulo.

Ssaabawandiisi w’ekibiina Kasule Lumumba

Kampeyini zino ezibadde ku mutimbagano ne Ttivi, zibadde zikubirizibwa Ssabawandiisi w’ekibiina Kasule Lumumba, Dayireekita w’ebyamawulire Emmanuel Dombo ne Hajji Moses Kigongo akikkiridde Ssentebe w’ ekibiina Yoweri Museveni.

Abeesimbyewo obwedda baweebwa eddakiika 5 – 8 okumatiza abalonzi nga balaga byebagenda okubakolera n’okusaba babalonde.

Hajji Kigongo akomye ku Minisita Namuganza obutalumba Sipiika Kadaga nga banoonya akalulu 

Bya Musasi Waffe

Omumyuka wa Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Moses Kigongo, awaliriziddwa okulagira eyeesimbyewo ku kifo ky’Omumyuka wa ssentebe omukyala Persis Namuganza obutalumba Sipiika Rebecca Kadaga bwebabadde bannoonya akalulu leero ku Lwokusatu ku kitebe ky’ekibiina.

Minisita Persis Namuganza bweyakutte akazindaalo teyalumye mu bigambo nalangira Sipiika Kadaga obutabeera muwulize eri Ssentebe w’ekibiina.

“Bwobeera ku kakiiko ka CEC olina okubeera omuwulize eri pulezidenti n’ekibiina. Mbasuubizza bwemunoonda, nja kukolaganira wamu ne bannange ku NEC so ssi nga Sipiika Kadaga” Namuganza bwagambye.

Kino kyawalirizza Dayireekita w’ebyempuliziganya mu NRM Emmanuel Dombo, okumukomako wabula nga ayongera kulanda kino kyaletedde Kigongo okukangula ku ddoboozi.

“Njagala okulungamya, bwojja wano, weyogereko era obuulire n’abantu byogenda okubakolera so ssi kulumba balala”,Kigongo bwalambise. 

Oluvanyuma ono yasuubizza nga bwajja okuzza  empisa mu kibiina singa anaaba awereddwa omukisa okuweereza.

Guno ssi gwe mulundi ogusoose Namuganza okwambalira Kadaga nga n’ omwezi oguwedde bweyakyala ku BBS Terefayina ku pulogullamu ya ‘Amaaso Ku Ggawanga’ yasaba abalonzi obutamuwa kalulu kubanga yali ayisa mu pulezidenti olugaayu.

Namuganza yategeeza nti, “Sipiika Kadaga yegatta naba Opozisoni era bamwagala nnyo, ensalawo y’ekibiina kyaffe tagiwa kitibwa”

Kinajjukirwa nti ekibiina kyasalawo okulonda kwa CEC kulekebwe ku bifo eby’enkizo era nga abeesimbyewo abalala okuli ba Ssentebe b’ebitundu naabo abavuganya ku bifo ebituula ku CEC bonna bawereddwa omukisa okubaako kyebagamba abalonzi.

Hajji Moses Kigongo nga ayogerako eri abalonzi

Hajji Kigongo nga ono yeesimbyewo ku ky’omumyuka wa Ssentebe asooka mu ggwanga yagambye nti “ Ndi wano okubeeyanjulira era mbasabe munzikkirize mbaweereze nga bulijjo. Natandika obukiiko obw’enjawulo nga tukyali munsiko n’obukiiko bw’ebyalo era neebaza ssentebe waffe olw’ amagezi amalungi gatuwadde.”

Ono yasiimye banne ababadde bamwesimbyeko kusalawo abasazeewo okumulekera nti kino kirungi kubanga kyongera okuzimba demokulaasiya munda mu kibiina.

Ku lulwe, Sipiika Rebecca Kadaga nga ayagala kya mumyuka ow’okubiri ow’abakyala  yategeezezza nga bwatunze eggwanga n’okulitumbula mu nsi ez’enjawulo era nga aliko n’amateeka gayambye okubaga era nasaba bamuwe omukisa.

Munne bwebali ku mbiranye, Minisita bweyafunye akazindaalo yatandikiddewo okulumba Kadaga nategeeza nga bwatawa Ssentebe wa kibiina kitibwa nga akola emirimu gye nga Sipiika.

Ono Hajji Kigongo yamukomyeko mangu namusaba yeemalire ku bintu byagenda okukolera abantu so ssi kulumba munne.

Namuganza oluvanyuma yategeezezza nti singa bamulonda agenda kulaba nga azza empisa mu kibiina.

“Twetaaga omuntu asobola okutalaaga eggwanga, JaneFrances asobola okubuukira boda ne bbaasi natuula mu kitundu kyonna eky’eggwanga. Mulonde omukulembeze ow’ekiseera kyamwe era nzijjidde mu bwetowaze n’okuwa ekitibwa abakulu mukibiina” Jane Francis nga naye ayagala kya mumyuka ow’okubiri owa bakyala bweyanyonyodde.

Ku mumyuka wa Ssentebe mu Buganda omubak Godfrey Kiwanda yasabye abantu bamulonde kubanga akoze kinene okulaba nga NRM enywera mu Buganda. Okuvuganya okwamanyi kuli wakati wa Kiwanda ne Moses Kalwanga Kaliisa.

Ate ye Capt. Mike Mukula nga ayagala kubeera mumyuka wa ssentebe e Buvanjuba yanyonyodde nga bwakoze ennyo okunyweza ekibiina mukitundu ekyo era nga ne Opozisoni eyali eyamanyi yaginafuya.

Munne bwebali ku mbiranye Omuyindi munnayuganda Sanjay, yalambuludde nga bwakulidde mu misingi gy’ekibiina era nga ayise mu bukiiko bw’abavubuka era nga akadde konna abadde muwulize eri ekibiina era okujja kwe kulaga nga NRM bweri enywevu okutuuka wansi mu bantu.

Nabavuganya okumyuka Ssentebe mubitundu ebirala nabo bawereddwa omukisa okubaako kyebasaba abalonzi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist