• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Aba National Unity Platform bakiise embuga: Katikkiro Mayiga aliko by’abasibiridde

Gambuuze by Gambuuze
December 15, 2025
in Amawulire
0 0
0
Aba National Unity Platform bakiise embuga: Katikkiro Mayiga aliko by’abasibiridde
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Maria Gorreth Namisagga

Mmengo – Kyaddondo

Bannakibiina ki National Unity Platform nga bakulembeddwamu omukulembeze w’ekibiina kino era nga y’akikwatidde bendera ku bukulembeze bw’eggwanga, Robert Kyagulanyi Ssentamu, bakyaddeko embuga mu Bulange e Mengo.Bano

Bano olutuuse basoose kwevumba kafubo mu kkakkalbizo lya Katikkiro, oluvannyuma ne bafuluma mu luggya lwa Bulange.

Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri bannakibiina kino, azzeemu okukikaatirizanti oluggi lwa Bulange luggule eri buli muntu ayagala okugenda okukiika Embuga, kasita omuntu oyo abeera nga assa ekitiibwa mu Bwakabaka era ng’akitegeera nti Kabaka y’ali ku ntikko mu Buganda.

Kamalabyonna, bano abajjukizza obukulu bw’Ensonga za Buganda Ssemasonga Ettaano (5), nga zino agamba ze zinnyonnyola amakulu g’ekigambo ‘ebyaffe’ abakubye akaama nti singa zino banaazigobeerera , abantu bajja kubaagala nnyo.

“Buli munnabyabufuzi atukyalira tumujjukiza Ensonga za Buganda Ssemasonga Ettaano okuli; okutaasa okukuuma n’okunyweza Nnamulondo, Okugabana obuyinza mu nkola eya Federo, Okukuuma Ettaka n’ensalo za Buganda, okukola obutaweera, n’Obumu, zino mbasaba muzikuume butiriibiri, abantu bajja kubaagala nga muzikoze” Katikkiro Mayiga.

Owoomumbuga abeebaziza okutambulanga ne bendera ya Uganda, era n’abasaba okwongera okukuza omwoyo gw’obwasseruganda mu bantu ba Uganda, ng’annyonnyola nti bannayuganda baagalana nnyo newankubadde waliwo abaagala baawukane naye bbo beeyagala nnyo kubanga bonna ebizibu ebibaluma kumpi bye bimu.

Owek. Mayiga asinzidde wano n’asaba abavubuka okwegendereza engeri gye basengekamu bye boogera, kubanga ebimu ng’agamba nti singa tebasengejja ebimu kw’ebyo bye boogera byanndibafiiriza emyaka gyabwe emirala mu maaso ng’abantu bajuliza ebyo bye baayogera, abajjukiza nti omutimbagano tegwerabira.

Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu, akulira National Unity Platform, era nga y’agikwatidde bendera ku bukulembeze bw’eggwanga, yebazizza Katikkiro olw’okubaanirizanga embuga era n’amukulisa n’okuggusa omulimu gw’okumaliriza eddimu eddene ery’okuzzaawo amasiro ga ba Ssekabaka e Kasubi.

Kyagulanyi ategeezeza nti ensonga enkulu ebaleese Embuga kwe kuloopa olutabaalo lwe baliko olw’okununula eggwanga, ono era ategeezeza nti bajja kusigala nga bawulize eri Obwakabaka, bwatyo n’asaba Katikkiro abatuusize obubaka eri Ssaabasajja, nti bamwagala nnyo era bamalirivu okukuuma Nnamulondo nga bajjajja abasooka.

Ye Omwogezi w’ekibiina kino era nga yakulira oludda oluvuganya Gavumenti mu palamenti Hon. Joel Ssenyonyi , agambye nti ensonga za Buganda okuweebwa ensimbi z’ebanja Gavumenti eya wakati bakyajiriko era tebajja okugivaako okutuusa ng’ekoleddwako, ono aloopedde Katikkiro embeera gye bayitamu mu kunonya akalulu omuli abawagizi naddala okukwatibwa ne basibwa nga n’abamu ku bbo balemeseddwa okuyingira Bulange leero.

Katikkiro mu nsisinkano eno aweerekeddwako ba Minisita ba Kabaka; Israel Kazibwe Kitooke, Mariam Nkalubo Mayanj, Noah Kiyimba, Choltilda Nakate n’abakungu abalala ate bbo banna-NUP, babaddewo n’abakulembeze ab’enjawulo mu kibiina n’abakwatidde ekibiina bendera ku bifo eby’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.