Abakulembeze b’ekibiina ki ‘Forum For Democratic Change’ basisinkanye ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi okuteesa ku ani alina okukwatira ekibiina kino bbendera ku kifo ky’obwapulezidenti.
Wadde nga ebibiina ebirala byamaze dda okulaga abagenda okubikwatira bbendera mukulonda kwa 2021, FDC ebadde tenaba kulaga muntu yenna asusunddwa ku kifo kino.
Okusinziira ku mawulire agava ku kitebe abakulu bakuteesa ku lunaku lwebanasunsulirako abagala ekifo kino wamu n’okukuba ttooci bale oba basobola okutuuza Ttabamiruka w’ekibiina wansi w’amateeka ga COVID gavumenti geyalagira.