
Bya Ssemakula John
Kirimya – Buddu
Ab’eddira ekika ky’Engabi nga bayita mu kibiina ekibagatta ki Abagabi Family Media Association basisinkanye nebakola Bulungibwansi ng’omu ku kaweefube w’okunyweza obumu n’okunyweza ennono yabwe mu kika kyabwe.
Bano basookedde mu kukola Bulungibwansi gwebakoze okwetoloola ebitundu by’e Kirimya mu kibuga Masaka mu ssaza Buddu.
Atwala Bulungibwansi mu Buddu, Omukungu Badru Kagga alaze obukulu bw’enkola eno gyayogeddeko nga mugattabantu,ekomyawo abantu okwagala ebitundu byabwe n’ensi yabwe ate era erambika omuntu ku mbeera gyalina okuwangaaliramu.
Ono asabye abantu okwagazisa naddala emiti emito Bulungibwansi,kko n’okubakuza nga bamutegeera.
Abagabi okuli Kasula Peter Mulindwa, Lubega Jjojjo, Muyiiga Lawrence Matovu n’abalala bagamba nti kino kijja kuyamba okukendeeza ku bucaafu obuvaako endwadde ez’enjawulo n’ensonga endala.
Bano era bagaala okulaga bavubuka bannabwe nti balina okubeera abayonjo n’okwewala okumansamansa kasasiro buli webasanze.

Bano oluvanyuma bakunganidde mu maka ga Jackson Mulindwa e Kirimya okulondoola emirimu ky’ekika nga bwegitambula.
Amyuka Ssentebe w’ekibiina ky’ Abagabi Family Media Association Mulindwa Ronald Lubega asabye abagabi okumanya amasiga gaabwe kuba kikuba enkikwe ng’ensangi zino n’abamu ku bantu abakulu tebamanyi masiga mwebasibuka.
Bazzukulu b’ekika ky’Engabi abalala abeetabye mu nsisinkano eno basabye abazadde okukomya omuze gw’okutuuma abaana abawala amannya g’ekisajja n’okutuuma amanya geegamu gayite Family name nga bagamba nti kikwotoggera ebika.








