Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni alabudde abasuubuzi abatandise okupaaluusa emiwendo gy’ebintu olw’akawuka ka Coronavirus akazinze eggwanga.
Museveni abadde ayogerako eri eggwanga omulundi ogw’okuna mu sabbiiti emu agambye nti agenda kuweereza bambega ku maduuka ag’enjawulo era oyo yenna anaakwatibwa ng’alinyisizza ebbeeyi y’ebintu layisinsiye emukkiriza okukola yakumugyibwako.
“Uganda okwawukana ku mawanga amalala, twerimira emmere yaffe, teva wabweru, kiki ekituseewo kati okwongeza ebintu. Tetujja kukkiriza bunyuunyuunsi wano,” Museveni bweyagambye.
Ate ku emiwendo gy’obudagala obunaabibwa mungalo kati nabo obulinyisibbwa ebbeeyi, Museveni yagambye abantu babwesonyiwe.
“Munaabe mu ngalo n’esabbuni yasinga okukola. Singa muzitukuza bulungi ne bwemuba temukozeseza sanitizer, mujja kuba bulungi,” Museveni bwegambye.
Okwawukanako ku bibadde bisuubirwa, Museveni agambye tagenda kugaana kukozesa ntambula ya lukale okutuusa nga gavumenti emaze okukiraba nti kyetaagisa okusobola okuziyiza ekirwada kya Coronavirus okweyongera.
Kyokka asabye abantu abatalina nnyo kyebeetaaza kutambula, okusigala ewaka okusobola okwewala okukwatibwa ekirwadde kino.
Agambye nti atandise okw’ogerako ne bannamakolero okulaba oba basobola okukola obugaali abantu bwebandi sobodde okutambulirako okwewala okukozesa takisi oba boda boda.
“Singa ekirwadde kino kyeyongera, okusaasaana teri kubuusabuusa tujja kuwera entambula y’olukale,” Museveni bweygaambye.
Eggulo, minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu mu gavumenti eyawakati, Jane Ruth Aceng, yategeezezza eggwanga nti abantu munaana abaabadde bava e Dubai mu United Arab Emirates, baasangiddwa n’akawuka ka Coronavirus nga kati bannayuganda abazuuliddwa n’ekirwadde kino baweze mwenda.
Abantu abakunukkiriza mu 400,000 bebakakwatibwa n’abalala 17,000 bafudde olw’ekirwadde kino.