Bya Fatuma Nakiwala
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima emisinde gy’amazaalibwa ge okumala emyaka esatu (2020-2022) gibeere ku mulamwa ogw’okulwanyisa okusaasaanyizibwa kwa kawuka ka mukenenya oluvannyuma lw’ekitongole ky’ebyobulamu okukizuula nti akawuka akaleeta mukenenya kasinga kwegiriisiza mu bavubuka ate mu bitundu bya Buganda.
Tujjukira bulungi nti mu mwezi ogw’okusatu nga 6 2017, Kabaka yakkiriza okukwata omumuli ogw’okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya era ab’ekitongole ky’amawanga amagatte ki UNAIDS nebamukwasa engabo.
Mu kaweefube ono, Kabaka akubiriza abasajja n’abalenzi okuba abasaale mu kulwanyisa akawuka kano nga bayita mu kweyambisa obupiira, okwekebeza ate nabo abakwatibwa edda okwekuumira ku kumira eddagala.
Mu kaweefube waffe ow’okwongera okuzuula ebyo ebiviirako abavubuka okukwatiba akawuka, tukuleetedde mwana muwala Christine Nalule 21 awangaalira e Buwambo nga atunyonyola engeri gye yakwatibwamu akawuka ku myaka 12 gyokka.
Nalule yazaalibwa ne banne abalala basatu era nga ye mwana ow’okubiri kyokka nnyina obufumbo tebwamugendera bulungi nasalawo abunnyuke.
Teyasobola kuteeka baana be ku mugugu era yabalekera kitaabwe oluvannyuma eyawasa omukyala omulala.
Okusinziira ku Nalule, muka kitaawe teyabayisa bulungi era embeera bweyalaba nga esusse okubijja kwe kusalawo olunaku lumu agende anoonye ku muganda wa nnyina gweyali amanyiiko eyo e Kireka, ebyembi yakanda kunoonya naye nga ekibuga kyakula dda nga newa muganda wa nnyina takyajjukirawo.
Obudde bwebweyongera okuwungeera nasalawo adde eka gyeyali atolose.
Munange nga afuna muzira kisa eyali avuga bodaboda namutegeeza nga obudde bwe bwali bugenderedde nga kyali kigwanidde abeeko weyeewogomako olwo omukama bwabujjako eddiba asobole okweyongerayo.
Omusajja yakkiriza kyokka gyebyaggweera nga muzira kisa afuuse kazaala bizibu.
Omugoba wa bodaboda yasobya ku Nalule era mu bigambo bye agamba bwati. “Yantwala mu nju nga temuli kintu kyonna okujjako obulili, yandekawo nangamba neebake era mu kiro mba mpujjadde kwe kumuwulira nga anvumbagatidde era yansobyako, bwamaliriza ogugwe neeyambayamba nensituka era mu matumbi budde nantambula kiwalazima okutuuka ku mulirwano ewaka gyennali nvudde.
Oluvannyuma lwennaku ssatu taata yatandika okunoonya era yanzuula nanzizaayo awaka.
Taata ne mukyala we bankuba emiggo emiyitirivu kyokka tebafaayo kumanya lwaki nali mbuze awaka era nebyali bintuseeko bwentyo nange nasirika.”
Eky’okubula awaka gwafuuka muze kubanga buli kitaange lweyagenda safari gyeyali akolera olwo awaka nga embeera eyongera okukaluba.
Ku myaka 15 Nalule yasalawo awaka naviirawo ddala era neyeefunirayo mwana munne neyeefumbiza, bwafuna olubuto bagenda mu ddwaliro olwo nekizuulibwa nti yali yakwatibwa akawuka akaleeta mukenenya kyokka nga bbawe yye mulamu.
Olw’okuba Nalule yali tawulirangako bikwata ku bulwadde bwa mukenenya ebyamugambibwa teyabifaako era ne ddagala eryamuweebwa teyatawaana kumirako wadde empeke emu.
Olukisakisa oluyisa sseddume we mbuzi mu baagiro nga anigiina lwelwayamba omwana wa Nalule okuzaalibwa nga talina kawuka akaleeta mukenenya.
Waayita mbale omwami natandika okwefuula era gyebyagweera nga Nalule obufumbo buganye olw’emiggo egyali gisusse okumukubwa..
Yasalawo yeegatte ku bikoosi by’abawala era e Mbalala eyo mu Mukono ensi yabatenda anti nga basula mu mazina, batamiira era nga kw’otadde n’okwetunda.
Waayita akaseera mpa weekaaga natandika okulwala ennyo, naayiwa amabwa omubiri gwonna kwegamba nga tasobola nakutambula, banne bamwetikka okutuuka ewabwe e Bukasa.
Yatandika okujanjabibwa mu malwaliro agawera kyokka nga okusosolebwa kususse ekyamutuusa n’okwagala okweggya mu budde.
Mu kiseera kino abeera ew’omukyala omuzira kisa eyasalawo okumubudaabuda oluvannyuma lw’abewaabwe bonna okumwesamba.
Emboozi eno gwe omusomi wa Gambuuze ogiyizeemu ki?