Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye Buganda bweba yaakudda ku ntikko, abavubuka balina okufumbiriganwa, kubanga amaka gwe omusingi okuzimbiddwa Obwakabaka. Nga ayogerera ku mukolo gw’okugatta abagole, Tony Ssentamu, mutabani [Taata omuto] wa Vicar General w’essaza ekkulu erya Kampala Munsinyooli Charles Kasibante ne Carolyn Namubiru ku Ekereziya ya Uganda Martyrs Minor Basilica e Munyonyo, Mayiga ategeezezza nti okuzza ku ntikko Obwakabaka si bigambo wabula kukola.
“Kabaka Mwanga nga yalamula, twali bantu bamanyifu okuva e Bule n’e Bweya. Tusobola okukizzaawo bwetuba tulina abantu abamaliridde okukolera Obuganda,” Mayiga bweyagambye. Yagasseeko nti abantubalamu, abakulidde mu maka agalina emisingi emigumu bebasobola okuzaala abaana nebabagunjula bulungi era nga bano Obwakabaka kwebujja okiyitira okuyitimuka. “Omuntumulamu gwetunoonya ennaku zino ye muntu ow’obuvunanyizibwa asobola okwawula ekituufu ku kikyamu.”
Mayiga era asabye abazadde okukola ennyo basobole okulabirira abaana baabwe obulungi. “Temuzaalira nsi; enjogera eyo nti buli mwana ajja n’omukisagwe, y’abantu bajega temugyetanniranga. Ekizaalibwa ne kijja n’omukisa kaba kamyu kubanga nnyina wako lw’akazaala ate lwawaka. Buno obwana bwekazadde bulina okujja n’omukisa, bwekitaba ekyo, ebibe bibulya nebubumalawo,” Mayiga bweyagambye. Ku lulwe, Munsinyooli Kasibante akuutidde abagole okutwala obufumbo nga nsonga nkulu kubanga kirabo okuva eri Katonda. “Omukama bwakuwa ekirabo obeera mukwebaza, ekirabo okisiima era buli lw’okirabako ogulumiza Katonda. Ekirabo kino mukikuume kubanga obufumbo kigambo kikulu nnyo mu Ekereziya kubanga kwezimbibwa,” Kasibante bweyagambye.
Ebyo nga bikyali awo, Katikkiro era yeetabye mu kugatta Nathan Mpenje mutabani w’omukungu Ronald Kirumira owa Buganda Twezimbe. Ono agatiddwa ne Pauline Nakato mu kanisa ya Katwe Martyrs Church.
Katikkiro yasinzidde wano n’asaba abavubuka okussa essira ku bireeta essanyu okusinga obudde bwonna okubumala ku kwogera ku bizibu. Katikkiro yasiimye nnyo Omukungu Kirumira olw’okuweereza Kabaka n’agamba nti kyekyamututte ku mukolo.