Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka-Buddu
Enteekateeka z’okujjukira olunaku lw’abajulizi zifulumye era nga Masaka yeddiziddwa omukisa okuddamu okutegeka okulamaga kw’omulundi guno oluvannyuma lw’emikolo gino obutabeerayo omwaka oguwedde olwa Ssennyiga Corona.
Kino kyabikkuddwa Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Masaka mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza e Kitovu, n’asaba abakkiriza okusabira ewaka ku ttivvi n’emitimbagano okusobola okwewala omujjuzo oguyinza okuvaako ekirwadde kya Corona okweyongera.
Mu mwaka gwa 2020, essaza ly’e Masaka lye lyali eryokutegeka emikolo gino era nga kaweefube w’okukung’aanya ensimbi zino yali atandikiddwako.
Okulamaga kuno okunaabeerawo nga 3 June omwaka guno okutandika ssaawa ssatu ez’okumakya, abateesiteesi balambuludde ku nteekateeka nga bw’eneebeera ng’abantu wajja kukkirizibwayo bayite bokka.
Okusinziira ku musumba Jjumba, abalamazi abava ebweru w’eggwanga n’abo abalamaza ebigere okuva wano mu ggwanga, nabo sibaakukkirizibwa.
Omusumba Jjumba alambuludde nti omulundi guno bajja kusinga okusabira emirembe mu ggwanga, okunyweza abakristu wamu n’okuwegayirira ensi esobola okuzuula eddagala lya Ssennyiga Corona.
Ku ky’abalamazi ababadde bafuna amazzi g’omukisa e Namugongo, Omusumba abasabye bafune amazzi bagatwalire abasasorodooti baabwe, bagawe omukisa eyo mu bigo byabwe kuba ku lunaku lwennyini abantu tebajja kukkirizibwa kunona mazzi gano.
Omuwanika w’enteekateeka eno, Rev. Fr. Anselm Edward Ssemwogerere, yategeezezza nti ku mulundi guno beetaaga obukadde bw’ensimbi 250 okutegeka okulamaga kuno nga ku zino balinako obukadde 151 zokka. Asabye abantu okudduukirira omulimu guno.
Kino kitegeeza nti beetagayo obukadde 99 wabula era okwawukanako n’okusolooza ssente okubadde kujja kubeerawo ng’abantu basonda mu kikungo, zino ezibulayo bakunze ebitongole okubakwasizaako.
Eyakulembeddemu enteekateeka eno, Fr.George William Lubega, yannyonnyodde nti enkola eno abaviiriddeko okusubwa ebintu bingi omuli n’okutongoza olunaku lw’okulamaga olw’abaana abato nga be baali bagenda okukitandika nga n’amasaza amalala gaali gaakulabira okwo.