Bya Jesse Lwanga
Mukono – Kyaggwe
Bannamawulire abagasakira mu disitulikiti y’e Mukono badduukiridde abaana abaliko obulemu n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu, basobole okutambuza obulamu. Bano nga bakulembeddwa Patrick Kyewalabye, abaana bano babasanze mu maka gaabwe aga Good Samaritan ku kyalo Nassuuti mu kibuga Mukono, era kino bakikoze ng’akabonero k’okwefumiitiriza ku lunaku lw’eddembe lya bannamawulire olwakuziddwa olunaku lw’eggulo.
Bannamawulire batonye ebintu okuli; Omuceere, Ssabbuuni, ssukaali, ssooda n’ebintu ebirala nga biino babikwasizza akulira ekifo kino ekya Fred Migidde.
Akulira ekifo kino, Fred Migadde yeebazizza bannamawulire bano olw’omutima omuyambi newakubadde ng’emirimu gyabwe bakikolera wakati mu kutulugunyizibwa ssaako n’okutiisibwatiisibwa abantu ab’enjawulo naddala abakuumaddembe.
Ono agenze mu maaso n’ategeeza ng’abamawulire bwe bakoze ekinene ennyo okulaba ng’abaana bano b’alabirira bafuna obuyambi nga babayisa ku mikutu gyabwe gye bakolera egyenjawulo. Amyuka mmeeya w’ekibuga Mukono, Kajoba Jamadah, avumiridde abantu abeefunyiridde okutyoboola eddembe ly’abamawulire mu ggwanga nti, bakola kikyamu n’abasaba okweddako.
Bannamawulire basabye abazadde naddala abaami obutasuulira baana baliko bulemu kuba nabo basobola bulungi okubeera abakulembeze oba bannamawulire ab’enkya.
Bano mu ngeri yeemu beekkokkodde engeri ebitongole ebikuumaddembe gye bibayisaamu omuli okubatulugunya kyokka nga babeera ku mirimu ne basaba gavumenti okuvaayo ku nsonga eno.