Bya Muwulizi Yusuf
Masaka – Buddu
Poliisi e Masaka ekakasizza nti ekutte abantu 64 ku bigambibwa nti beenyigidde mu kwekalakaasa okuyingidde olunaku Olwokubiri.
Masaka y’emu ku bitundu ebyekalakaasizza nga bawakanya okukwatibwa kwa Munnabyabufuzi, Robert Kyagulanyi Ssentamu, bwe yabadde anoonya akalulu e Luuka n’aggalira e Nalufenya mu Jinja.
Okuva okwekalakaasa bwe kwatandise olunaku lw’eggulo, poliisi yatandise okukwata abo bonna abagambibwa okwenyigira mu kwekalakaasa.
Muhammad Nsubuga ayogerera poliisi e Masaka akakasizza okukwatibwa kw’abantu 64.
Mu bakwate kuliko bannabyabufuzi abeesimbyewo mu kibuga Masaka okuli; Dr. Abed Bwanika, Florence Namayanja, Juliet Kakande, Kanyike Evans, nga bonna bannakibiina kya NUP ne Munna DP Fred Mukasa Mbidde aggyiddwa mu wooteeri ya Tropic Inn.
“Emisango egimu gye tubagguddeko kuliko okukumaakuma omuliro mu bantu wamu n’okweyisa mu ngeri eyinza okuvaako omusaasaana kw’ekirwadde ekikambwe ekya Covid- 19.” Nsubuga bw’ayogedde okutegeeza nti era essaawa yonna bano baakutwalibwa mu kkooti.
Wabula okusinziira kw’akulira NUP e Masaka, Francis Kimuli, ategeezezza ng’abamu ku bano bwe baggyiddwa mu maka g’omubaka Mathias Mpuuga mu Soweto bwe baabadde mu lukiiko okulaba engeri gye banaayaniriza Kyagulanyi.
Kyagulanyi abadde asuubirwa okugenda e Masaka olunaku lwaleero era ku ssaawa munaana ayogereko eri bannamasaka ng’abasaba akalulu.
Abantu bangi abazze okulaba abasibe baabwe wabula tebabaganyizza era nga bangi batutegeezezza nti Poliisi ebalemesezza okubatwalira emmere n’eddagala.
Mu balozezza ku bukambwe bwa Poliisi kwe kubadde ne Ssaabawandiisi wa JEEMA mu Uganda, Muhammad Kateregga, bw’agobeddwa era ono ekizimbe kya poliisi akifulumye talinnya.
Okwekalakaasa ne leero kuzzeemu era wano ab’ebyokwerinda ne balagira abasuubuzi mu kibuga Masaka okuggala amaduuka gaabwe badde eka.
Ku by’olukung’aana lwa Robert Kyagulanyi Ssentamu mu Masaka leero, Nsubuga agambye nti bo nga Poliisi tebalina buyinza kusaazaamu lukung’aana kuba obuyinza obwo bwa kakiiko ka byakulonda.