• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

64 beebakwatiddwa e Masaka, Abed Bwanika ne banne bakyali munda

Gambuuze by Gambuuze
November 19, 2020
in Amawulire
0 0
0
64  beebakwatiddwa e  Masaka, Abed Bwanika ne banne bakyali munda
0
SHARES
7
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Muwulizi Yusuf

Masaka – Buddu

Poliisi e Masaka ekakasizza nti ekutte abantu 64 ku bigambibwa nti beenyigidde mu kwekalakaasa okuyingidde olunaku Olwokubiri.

Ab’ebyokwerinda nga batwala abamu ku bavubuka

Masaka y’emu ku bitundu ebyekalakaasizza nga bawakanya okukwatibwa kwa Munnabyabufuzi, Robert Kyagulanyi Ssentamu, bwe yabadde anoonya akalulu e Luuka n’aggalira e Nalufenya mu Jinja.

Okuva okwekalakaasa bwe kwatandise olunaku lw’eggulo, poliisi yatandise okukwata abo bonna abagambibwa okwenyigira  mu kwekalakaasa.

Muhammad Nsubuga ayogerera poliisi e Masaka akakasizza okukwatibwa kw’abantu 64.

Mu bakwate kuliko bannabyabufuzi abeesimbyewo mu kibuga Masaka okuli; Dr. Abed Bwanika, Florence Namayanja, Juliet Kakande, Kanyike Evans, nga bonna bannakibiina kya NUP ne Munna DP Fred Mukasa Mbidde aggyiddwa mu wooteeri ya Tropic Inn.

“Emisango egimu gye tubagguddeko kuliko okukumaakuma omuliro mu bantu wamu n’okweyisa mu ngeri eyinza okuvaako omusaasaana kw’ekirwadde ekikambwe ekya Covid- 19.” Nsubuga bw’ayogedde okutegeeza nti era essaawa yonna bano baakutwalibwa mu kkooti.

Wabula okusinziira kw’akulira NUP e Masaka, Francis Kimuli, ategeezezza ng’abamu ku bano bwe baggyiddwa mu maka g’omubaka  Mathias Mpuuga mu Soweto bwe baabadde mu lukiiko okulaba engeri gye banaayaniriza Kyagulanyi.

Kyagulanyi abadde asuubirwa okugenda e Masaka olunaku lwaleero era ku ssaawa munaana ayogereko eri bannamasaka ng’abasaba akalulu.

Abantu bangi abazze okulaba abasibe baabwe wabula tebabaganyizza era nga bangi batutegeezezza nti Poliisi ebalemesezza okubatwalira emmere n’eddagala.

Mu balozezza ku bukambwe bwa Poliisi kwe kubadde ne Ssaabawandiisi wa JEEMA mu Uganda, Muhammad Kateregga, bw’agobeddwa era ono ekizimbe kya poliisi akifulumye talinnya.

Okwekalakaasa ne leero kuzzeemu era wano ab’ebyokwerinda ne balagira abasuubuzi mu kibuga Masaka okuggala amaduuka gaabwe badde eka.

Ku by’olukung’aana lwa Robert Kyagulanyi Ssentamu mu Masaka leero, Nsubuga agambye nti bo nga Poliisi tebalina buyinza kusaazaamu lukung’aana  kuba obuyinza obwo bwa kakiiko ka byakulonda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist