
Bya Ssemakula John
Lubaga – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omuzaana w’omulangira David Alexander Ssimbwa eyaseerera Ssaabiiti ewedde nebwebaza Katonda olw’obulamu bwe wamu n’okumukozesa ebirungi eri ensi ye.
Bino bibadde mu kusabira omubiri gw’omugenzi mu lutikko e Namirembe ku Lwokubiri ng’ omukolo guno gwetabiddwako Katikkiro Charles Peter Mayiga awamu n’abakungu abalala.
Omulangira David Alexander Ssimbwa, yali muganda wa Ssekabaka Edward Muteesa II. Yaseerera mu mwaka ogwa 2014, n’aterekebwa mu Masiro e Kasubi.

Bw’abadde ayogera ku mugenzi, Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, agambye nti Omuzaana ono aleze Abalangira n’Abambejja awamu n’abazzukulu ab’Olulyo Olulangira, okuviira ddala mu kaseera akazibu olubiri bwe lwa lumbibwa n’Obwakabaka ne buwerebwa okutuuka w’afiiridde.
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza abakungubazi nti akasambattuko aka 1966 kaakosa nnyo ab’Olulyo Olulangira nga bangi battibwa, abalala ne basibwa mu makomera ate n’abalala ne bawangaangukira mu nsi endala.
Owek. Mayiga agambye nti abaasigala nga bagumu, beebo abalina ababeezi abeesimbu nga Mary Nankumbi, eyabeera ku lusegere lwa bba n’amugumya okutuusa Omulangira lwe yaseerera.
Yeebazizza Omugenzi olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’omuzadde mu ngeri gye yalera mu Abalangira, Abambejja n’Abazzukulu ab’Olulyo Olulangira.

Omukolo gw’okusaba gwakulembeddwamu Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Bishop Samuel Balagadde Ssekadde, asabye bonna abakwatibwako okukumaakuma abaana b’enju y’omugenzi Ssimbwa babeere bumu.
Omulabirizi akuutidde abakkiriza okukolerera obulamu obw’omu ggulu kuba bwe businga omugaso.
Kulw’abaana, Omulangira Joseph Mulondo, muzukulu w’Omulangira David Alexander Ssimbwa, yeebazizza nnyo nnyaabwe olw’okubagaala n’okubagunjula obulungi.

Okusaba kwetabiddwako, Katikkiro eyawummula Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Minisita w’Olukiiko eyawummula Oweek. Christine Mugerwa Kasule, Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe, Abalangira n’Abambejja, Hon. Godfrey Kiwanda Ssuubi, n’abantu abalala bangi.
Omugenzi afiiridde ku myaka 85, era wakuterekebwa mu Masiro ge Kasubi olwaleero









